Indirimbo ya 1 mu CATHOLIC LUGANDA
1. ABASOMI, MUJJE TUSOME MMWE
Ekidd: | |
: Abasomi mujje tusome mmwe, Bannamukisa mujje tumusinze; Tugulumize Omukama twebaze Tugulumize Omukama twebaze. | |
1. | Tufukamire mu maaso g’Omukama ono Tuyimbire Omukama owaffe Tumukubire emizira leero Kitaffe y’asinga. |
2. | Ka tuyimbire mu maaso g’Omukama ono Tujagulize mu Mukama owaffe Ye mukulu eyakola byonna Ali awo ng’alamula. |
3. | Tufukamire mu maaso g‟Omukama ono Tuyimbire Omukama owaffe Mu Kitambiro ekikulu leero Kubanga y‟atuyise. |
4. | Ffe tumusabe Omusumba w‟obuliga bwe ono Ategereze ebyaffe abaana Atukuume mu Kisibo kye ffenna Ng‟ataasa, ng‟alunda. |
5. | Mmwe muwulire eddoboozi ly‟Omukama ono Mmwe muggule emitima egyammwe, Mumugondere, Mukama yekka Ye nnannyini ddembe. |
6. | Atenderezebwe Omutonzi ye Taata ono Mwoyo ssaako Yezu Omwana Tubatende bonsatule ye Omu Ali awo ng‟alamula. |
By: Fr. Joseph Nnamukangula |