Indirimbo ya 2 mu CATHOLIC LUGANDA
2. EGGWANGA LYA KATONDA
Ekidd: | |
: Eggwanga lya Katonda – Ffe tuutuno x2 Musembere tusaakaanye Tukube amavi ffe twebaze Ddala ddala olw’Omukama eyatwagala Yatwagala yatwagala Omukama yatwagala. Yatwagala, yatwagala Omukama yatwagala… Yatwagala, yatwagala N’ayitiriza. Yatwagala… N’ayitiriza. | |
1. | Omuyinza wa byonna oyo Nnantalemwa, Yatunuulira Uganda nga ya nzikiza, N‟atukwatirwa ekisa n‟atusaasira, N‟atukolera entegeka, ajje atulokole N‟atutumira Kristu Omwana we ddala Ajje atugobeko sitaani eyali atwefuze. |
2. | Abaminsani abazira besowolayo, Katonda be yalonda batuuke muno. Baakola buteddiza baatulungiya, Baatumanyisa Kristu n‟amazima ge, Baatukumamu omuliro baatubangula Eggwanga lya Uganda lyafuuka lirye. |
3. | Mu kusomesa abantu baali bagumu, Ng’olaba Mapeera oyo bwe yebuga Beesiganga Kristu n’abalunngamya Baakolanga n’amaanyi g’otosuubira Kyasanyukirwa nnyo ekyo eky’okulokolwa Kyaviramu n’abangi okubatizibwa. |
4. | Omukulembeze wa byonna yesowolayo, Mukasa eyasooka nga wa njawulo. Kyava mu buyinza obw’Omulokozi N’agaya ebyensi eno n’abiwangula N’akulembera bangi ewa Kristu Mulumba ate n’abalala baamwegattako. |
5. | ===Abazira omusaayi baaguyiwa Ne guletera Uganda obulokofu, Twasooka bulungi tulina amaka, Omutuviira bannaddiini abaliwo kati, N‟atuwa bakabona abamufaanana Bakulembere eggwanga ly‟abatambuze. |
6. | Mu mateeka ga Lugaba kye kiragiro, Okwagalanga bannaffe tubalokole, Tteeka lya Kristu ly‟atukuutira, Bwe bulamu bw‟obutume bw‟ogoberera, Baakutuuma n‟erinnya ery‟obukristu Otuukirize ekitundu ky‟obutume obwo. |
7. | Mu busenze bwa Kristu mw‟atuyitira, Ekyasa ky‟emyaka kati kiweze Tuli mu kusinza n‟okumwebaza Nnamugereka eyajja n‟atuzaawula N‟atuwonya sitaani n‟obulimba bwe, N‟atutuusa ku bulamu obw‟olubeerera. |
8. | Ekibiina kya Mapeera kyayanyirawo Ng‟omuzadde w‟ensi eno ye Nnamasole Baamukwasa n‟ensi eno n‟emuwongerwa N‟atufunyisa enneema ey‟obujulizi Tutunuulira Maria tuli bagumu Luliba lumu gy‟ali tulituukayo. |
By: Mr. Kamya |