Indirimbo ya 3 mu CATHOLIC LUGANDA
3. EMBUGA ZO NNUNGI
Ekidd: | |
: Embuga zo nnungi Mukama wange, Embuga zo nnungi Mukama wange, Aa! Ntwala eyo gye mba mpummulira nga nkutenda. | |
1. | Twesiimye nnyo abaana b‟enngoma ffe abaana bo olwa Batismu, Tweyanzizza Mukama waffe, ffe b‟oyise mu kutambira. |
2. | Luno lwe lunaku olw‟Omukama, tumutende ffe mu nnyumba ye, Wamma tumutende Mukama waffe, mu Yeruzalemu wakati. |
3. | Ka nngende ku Altari y‟Omukama, Kawamigero oyo eyatutonda, Mujje tumutende Katonda Kitaffe tumwebaze. |
4. | Ffenna twegatte wamu ne Kristu, Omutambizi ow‟oku ntikko Y‟oyo Kristu eyatununula ku musaalaba, ng‟atufiirira. |
5. | Ffe abateesobola, Taata yamba otutukuze tukusanyuse, Tulyoke tutambire wamu ne Kristu Omwana wo omu eyatununula. |
By: Lukyamuzi |