Indirimbo ya 4 mu CATHOLIC LUGANDA

4. GANO GANO AMAZZI


Ekidd:
: Gano gano amazzi ag’omukisa,
Gatujjukiza gali aga Batismu mwe twabatizibwa,
Gano gano amazzi amatukuvu,
Gazza buto Batismu yaffe.
1.Amazzi ga Batismu gatutukuza
Amazzi ga Batismu gatutukuza
Tutti: Ne tuzaalibwa obuggya mu Katonda
Amazzi ga Batismu gatunaaza
Amazzi ga Batismu gatunaaza
Tutti: Gatufuula baana ba Katonda
2.Onommansaako amazzi Ayi Mukama onontukuza
Ontukuze okusinga omuzira Ontukuze okusinga omuzira
Nze kye nkusaba Mukama Ayi Mukama era nkusaba
Ebibi byange obimmaleko Ebibi byange obimmaleko
Otenderezebwe nnyo Kitaffe Ne Mwana ne Mwoyo
Tutti: Emirembe n‟emirembe – AMIINA.
By: Fr. Expedito Magembe



Uri kuririmba: Indirimbo ya 4 mu Catholic luganda