Indirimbo ya 5 mu CATHOLIC LUGANDA
5. HA! NNAMULONDO YO NNUNGI
Ekidd: | |
: Ha! Nnamulondo yo nnungi, Ayi Mukama, n’Omwaliiro kw’etudde gutenngeenya, Nneegomba okubeera awo awali ggwe, nga nsinza Bwe ntyo nga ntenda obuyinza bwo. | |
1. | Tuzze wuwo olwaleero -Tusinze wamu ffe b‟olunda ab‟enda emu. Mu Kiggwa kyo Mukama owaffe -Taata tukkirize Tutuuke awo ku mwaliiro. |
2. | Ggwe owaffe -Ffe abasobya ne tukunyiiza buli lukya ate ne luziba. Twekembe ensobi tuzikyawe -Tuyubule, Taata otuzze buto wano – mu Missa yo. |
3. | Twebaza nnyo by’otuwadde -Enneema z‟otuwa tuzisiimye ak‟ensusso -Ka tubikyawe ebibi byaffe ebyo -Taata tusonyiwe, ffe tubikyawe leero ne bulijjo. |
4. | Nga tussa kimu – mu Missa yo leero Gano Agansanyusa – ag‟ekigambo kyo ekitubuulirira. Tusiibe nago mawulire malungi olw‟okwagala, n‟okukutenda ggwe Nnamugereka. |
5. | Omutenza-ggulu Kawamigero – Ffe abali ekimu ne Kristu Yezu, Omwana wo. Mwoyo wo akke gye tuli Omukubagiza owaffe tudde eka nga tuli bumu – ku lw‟ekitiibwa kyo, AMIINA. |
By: Alphonse Ssebunnya |