Indirimbo ya 9 mu CATHOLIC LUGANDA

9. LEERO TULI MU SSANYU


Ekidd:
: Leero tuli mu ssanyu,
ffenna tuli mu ssanyu
Mu maaso ga Kitaffe Katonda (x2)
Tumusinze Nnannyini nsi, tumutende nnannyini nsi,
Tumwebaze by’atuwa Katonda,
Mu Kitambiro Kristu mw’atugasse ffe abantu.
1.Ekibiina kisanyuka, anti Kristu ali naffe,
Ffe Kristu alabika, ffe Kristu aweereza Patri,
Ekitambiro ekimusanyusa; mujje b‟amanyi ntujjo,
Ensi n‟eggulu yimba, mujje b‟amanyi ntujjo,
Ensi n‟eggulu sinza.
2.Ekibiina kijaguza, anti Kristu ali naffe,
Ffe ggwanga erisoma, ffe Kristu aweereza Patri,
Ekitambiro eky‟olubeerera.
Mujje b‟amanyi ntujjo, ensi n‟eggulu yimba
Mujje b‟amanyi ntujjo, ensi n‟eggulu sinza.
3.Ekibiina kizimbibwa ku oyo Kristu eyatuganza
Kristu ye ntabiro, nga nnywevu ennyumba ya Kristu
Eyazimbibwa Mwoyo agituulamu.
Mwenna b‟ayise abangi, mujje mwebaze Ddunda,
Mwenna b‟ayise abangi, mujje mwebaze Ddunda.
4.Ekibiina kisanyuka, anti Kristu yatugamba:
“Nywera nze nkomawo, ndidda nze ne nkutuusa eyo,
Mu kujaguza okw‟olubeerera.”
Mwenna abamanyi Yezu,
mujje twebaze Ddunda. x2
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 9 mu Catholic luganda