Indirimbo ya 11 mu CATHOLIC LUGANDA
11. LINO LYE GGWANGA LYA KATONDA
1. | Lino lye ggwanga lya Katonda, eryalondwa Ddunda waffe, Ligattibwa n‟ekigambo kye, eryaganja ewa Katonda, Y‟Eklezia wa Kristu. |
2. | Ekiggwa ekyazimbwa luli edda, ku musingi omunywevu ennyo, Ku Kristu ejjinja ly‟ensonda, kye Kiggwa ekyo ekya Katonda, Y‟Eklezia wa Kristu. |
3. | Eggwanga ezzaale mu Batismu, erya Mwoyo Mutuukirivu, Anti atuula mu kino Ekiggwa, eggwanga Yezu mw‟abeera Y‟Eklezia wa Kristu. |
4. | Eggwanga eritemagana ennyo, olw‟enneema ya Kristu oyo, Eggwanga erisikira enneema, eryesiga Yezu Kristu, Y‟Eklezia wa Kristu. |
5. | Likkiriza Kristu by‟agamba, libituusa mu kwagala, Litudde nga teritya nsi eno, eryesiima ne Katonda, Y‟Eklezia wa Kristu. |
By: Fr. James Kabuye |