Indirimbo ya 12 mu CATHOLIC LUGANDA
12. MUJJE MWENNA, ABAKRISTU
Ekidd: | |
: Mujje mwenna, Bakristu, mwanguwe mu Eklezia; Kitaffe tumusinze ffe abaana b’aganza Mujje tumwebaze nga twegasse ne Yezu Mujje mmwe Bakristu, Mujje mu Missa. | |
1. | Tugenda n‟essanyu lingi ewa Kitaffe gy‟abeera Mu maaso ge tufuna eddembe, mu maaso ge ffe tunaatya ki? Tuutuno Kitaffe, b‟olunda, tukuwa ekitiibwa n‟ettendo Olw‟obukulu bwo. |
2. | Mmwe ggwanga lye mmwe yalonda, ab‟olulyo olulangira. Olw‟okuba enneema gy‟atuwa,eyonja ennyo emyoyo mw‟atuula; Tujjula ebirungi n‟enneema by‟atuwa Kitaffe ow‟ettendo, Tumwebaze wamu. |
3. | Ssanyu ddala liba lingi, abasinza Katonda omu, Lwe beetaba anti okussa ekimu,ne beebaza Ddunda wa byonna Baatula amatendo ga Ddunda, baddamu okuyimba n‟amaanyi, Batenda Oyo Aliwo. |
4. | Twegatta ne Yezu Kristu, ye Mwana we anti gw‟azaala. Byonna nga tibinnatondebwa nga tiwali kintu na kimu, Yezu y‟atuyamba n‟agamba: “Togoba Kitange, b‟olyoye, olw‟ekitiibwa kyo.” |
By: Fr. James Kabuye |