Indirimbo ya 13 mu CATHOLIC LUGANDA
13. MUJJE TUKUNNGAANE KU LUNO
Ekidd: | |
: Mujje tukunngaane ku luno, aboluganda enkumu Yezu yatugatta ffenna, lwe twafuna Batismu. | |
1. | Twebaze leero ow‟ekisa Kitaffe, ffe yalonda mu bantu abangi Tube baawufu, bantu be, baana, eggwanga lye yalonda yekka. |
2. | Tuutuno leero twetabe mu Missa, ffe ggwanga lya Kristu ly‟alunda Mujje twebaze Katonda Patri, Kitaffe Oyo eyatulokola. |
3. | Twejaga ffenna be yawa obulamu, ffe baana, ffe ggwanga ly‟alunda Era twafuuka baganda ba Yezu, eyafuuka omuntu nga ffe ddala. |
4. | Twetaba ffenna mu Kitambiro kye, kye yawaayo Yezu ku lwaffe, leero Twesiga nga tujja kufuna ffenna enneema enkumu ddala. |
5. | Twegayirire ffe wamu ne Yezu, tuli bitundu bya Kristu Oyo, Abakkiriza mu Ddunda Kitaffe, mujje tutambire okwebaza. |
By: Fr. James Kabuye |