Indirimbo ya 14 mu CATHOLIC LUGANDA
14. MUJJE TUSOME
Ekidd: | |
: Mujje mujje tusome, Abaana ba Katonda b’alonze, Mmwe ggwanga lye, mmwe Kristu alabika x2 Mujje muyingire mu Kiggwa kye, tumusinze, Tumwebaze Nnyinimu, tumusinze, tumwebaze nnyinimu. | |
1. | Wa buyinza wa ttendo, Mukama Katonda ow‟amagye x2 Yatugabira obulamu n‟atuzaala, kya kitalo, Mu Batismu, yatufuula baana, ffe ggwanga lye Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola. Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola ensi eno. |
2. | Mwe abalungi mweyanze, Mukama Katonda Mutagobwa x2 Yatumulisa amagezi n‟atulonda, kya magero, Ye yasindika, yatuma na Mwana eri abaddu be, Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola. Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola ensi eno. |
3. | Tumutende mu nnyimba, Mukama Katonda Mutagobwa x2 Ggwe abakwesiga obamanyi n‟obataasa, kya mazima Obataasa, obalunda Ddunda n‟oba engabo. Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu b‟amanyi. Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu b‟amanyi bw‟atyo. |
4. | Omuyinza wa maanyi, Mukama Katonda musaasizi x2 Yatumanyisa ebikulu ebyaliwo, ng‟atutonda, Mu masooka, yatulondamu ffe ng‟atwagala, Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola. Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola ensi eno. |
5. | Mmwe abatuufu b‟agamba, Mukama Katonda mu Nnyumba ye x2 Mube batume, bakozi abantegeera, ba mazima, abalunngamu, Abantu abateefu, eggwanga essomi. Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola. Tumugulumize, tumutende, ffe Kristu alokola ensi eno. |
By: Fr. James Kabuye |