Indirimbo ya 20 mu CATHOLIC LUGANDA
20. NJA KUYINGIRA
Ekidd: | |
: Nja kuyingira ne mu Kiggwa kyo Nkwewe nze mu Eklezia Entukuvu Nkusseemu Ggwe ekitiibwa, Ayi Mukama w’eggulu. | |
1. | Ayi Mukama ebigambo byange bitegere amatu, Wulira okukungubaga kwange Wulira eddoboozi ly‟okwegayirira kwange Ayi Kabaka wange, Katonda wange. |
2. | Anti nkuwanjagira ayi Mukama wange Ku makya owulira eddoboozi lyange Anti Ggwe toli Katonda asanyukira amayisa amakyamu Ow‟ekyejo ewuwo tabeerayo, n‟abayisa obubi tibasigala mu maaso go. |
3. | Naye nze nga bw‟onnganza ennyo oti Ggwe Katonda wange Nja kuyingira mu Nnyumba yo muno, Nja kweyala mu Kiggwa kyo Ekitukuvu nga nkutya Ggwe Ayi Mukama Katonda wange. |
4. | Bataase basanyuke olw‟okubeera Ggwe Kitaffe Abo abaagala erinnya lyo, Anti Ggwe ayi Mukama oliwa omukisa omutuufu Olimwetoolooza ebirungi by‟omukolera ne biba ng‟engabo. |
By: Fr. James Kabuye |