Indirimbo ya 21 mu CATHOLIC LUGANDA

21. OMUTIMA GWANGE


Ekidd:
: Omutima gwange n’omubiri gwange leero bijaguza
Anti biraga eri Katonda Omulamu.
1.Ekisulo kyo nga kyagalwa, nga kyagalwa
Ayi Mukama, Ekisulo kyo nga kyagalwa!
2.Omwoyo gwange gwegomba nnyo empya ennungi ez‟Omukama,
Omutima gunnuma nzituukemu, Mukama wange.
3.Enkazaluggya nga tebulwa w‟ezimba
Akataayi nako nga keekolera ekisu kyako,
Era n‟obwana ne bufuna we bwebaka.
4.Abo beesiimye nnyo abasula mu Nju yo
Ayi Mukama, abantu bo bakutenda.
5.Oyo eyetegese mu mutima, yeesiimye,
Mu nngendo entukuvu gw‟oyamba yeesiimye.
6.Ojje obongeremu, ayi Mukama, obuzira bwo
Mu Sion mw‟osula amaaso bakwegese.
7.Nze nkwegayiridde, ayi Mukama, nnyini magye,
Era owa Yakobo, tega amatu, otuwulire.
8.Mazima n‟olunaku olumu luti mu mpya zo, ,
Lusinga olukumi ze tumala Ggwe w‟otaba.
9.Nsiima nnyimirire ku kifugi eky‟Enju yo
Okusinga mu weema aboonoonyi mwe basangwa.
10.Mukulu w‟amagye, beesiimye abakwesiga,
Ggwe tomma birungi, abakusaba bo bafuna.
By: Fr. Vincent Bakkabulindi



Uri kuririmba: Indirimbo ya 21 mu Catholic luganda