Indirimbo ya 23 mu CATHOLIC LUGANDA
23. YIMUKA YERUZALEMU
Ekidd: | |
. Yimuka Yeruzalemu otangaale yimuka Ggwe Eklezia otangaale oli magero, Yimuka Yeruzalemu otangaale. Yimuka yimuka, yimuka osagambize, Anti Omukama atuuse ng’ayita mu Ggwe, N’ekitiibwa kye kyeyolese nga kiri mu Ggwe. Tangaaza ensi eno n’amazima go, Yigiriza ensi eno etebenkere x2 etangaale. | |
1. | Ayi Mugole wa Yezu Ggwe Eklezia olisanyuka wamma n‟oyitiriza, Ng‟olaba amawanga n‟abakungu bonna nga beeyuna ewuwo: OKUGULUMIZA OMUKAMA DDUNDA. Nga baleeta n‟ebirabo eby‟okujaganya OKUGULUMIZA OMUKAMA DDUNDA Nga bafuuwa n‟emirere egy‟okujaganya Bonna anti baana bo Ggwe Nnyaabwe Nnamukisa. |
2. | Ayi Ggwe ggwanga lya Ddunda, Ggwe Eklezia, Oligaziwa wamma n‟oyitirira, ng‟ofuna ekitiibwa, Eky‟obuzadde bonna bonna nga bagobye; OKUGULUMIZA OMUKAMA DDUNDA. Nga baleeta ne zawabu ow‟okutonebwa OKUGULUMIZA OMUKAMA DDUNDA. Nga bayimba n‟ennyimba ez‟okujaganya, Bonna anti baana bo ggwe Nnyaabwe gwe bamanyi. |
3. | Ayi Mubiri gwa Yezu Ggwe Eklezia, Olisanyuka wamma n‟oyitirira, Ng‟olaba omatidde, n‟obakira bonna, nga wenyumiriza, OKUGULUMIZA OMUKAMA DDUNDA. Ng‟oyaniriza Omukama n‟ebitambiro, OKUGULUMIZA OMUKAMA DDUNDA. Nga bireetebwa Kristu ne baganzi be, Bonna abalondemu ne Kristu bali Kimu. |
4. | Ayi kizimbe kya Yezu Ggwe Eklezia, Emiryango wamma gyaggulwa lumu, Tegita kusomba abaana bo bulijjo, nga beyuna ewuwo, OKUGULUMIZA OMUKAMA DDUNDA. Abamulisa Kristu n‟ekigambo kye. OKUGULUMIZA OMUKAMA DDUNDA. Abawagira Kristu n‟abawanguza, Bonna baganda ba Kristu y‟abakulira. |
By: Fr. James Kabuye |