Indirimbo ya 24 mu CATHOLIC LUGANDA

24. ABAAVU MU MWOYO


1.Abaavu mu mwoyo beesiimye,
obwakabaka obw‟omu ggulu balibulya
Ekidd:
: I Ba mukisa ………… Beesuneko baliwanngama.
Ekidd:
Ekidd: II Yee, ba mukisa nnyo Omukama alibateeka ku mukono gwe ogwa ddyo.
2.Abantu abateefu beesiimye balirya ensi -Ba mukisa
Beesuneko balisukkuluma.
3.Abo abasinda beesiimye, balikubagizibwa -Ba mukisa
Beesuneko balisanyulwa.
4.Abalumwa enjala n‟ennyota, ey‟obutuukirivu, -Ba mukisa
Beesiimye balikkusibwa Beesuneko balimatira.
5.Abalina ekisa, beesiimye, baligirirwa ekisa -Ba mukisa
Beesuneko balyerolera.
6.Abomutima omulongoofu,beesiimye baliraba Katonda -Ba mukisa
Beesuneko balyerolera.
7.Abaleeta emirembe beesiimye,baana ba Katonda -Ba mukisa
Beesuneko balyegiriisa.
8.Abayigganyizibwa,olw‟obutuukirivu,beesiimye
Obwakabaka bw‟omu ggulu balibulya -Ba mukisa
Baliwanngama abo balitikkirwa.
By: Sr. Peter



Uri kuririmba: Indirimbo ya 24 mu Catholic luganda