Indirimbo ya 28 mu CATHOLIC LUGANDA
28. AYI MUKAMA, OMWOYO GWANGE
Ekidd: | |
: Ayi Mukama, omwoyo gwange gusuubira mu Ggwe, Ggwe Omutonzi wange. | |
1. | Nnayima ekkuzimu ne mpanjagira gy‟oli ayi Mukama, Ayi Mukama wuliriza eddoboozi lyange. |
2. | Amatu agago gawulirize leero, Eddoboozi ery‟okuwanjaga kwange. |
3. | Oba kujjukira bibi bulijjo ayi Mukama, Ayi Mukama singa ani aliwo? |
4. | Naye ewuwo y‟eri ekisonyiwo eky‟ebibi byonna, Basobole okukuweereza n‟ekitiibwa kyonna. |
5. | Nsuubira mu Mukama omuyambi wange, Omwoyo gwange gusuubira mu kigambo kyo. |
6. | Omwoyo gwange gulindirira Omukama omuyambi wange, N‟okukira abakuumi bwe balindirira mmambya ajja. |
7. | Okukira abakuumi bwe balindirira mmambya avaayo ati, Yisraeli bw‟alindirira Omukama Katonda. |
8. | Yennyini y‟alinunula Yisraeli mu bibi bye byonna, Omukama oyo Katonda we. |
By: Fr. James Kabuye |