Indirimbo ya 29 mu CATHOLIC LUGANDA
29. AYI MUKAMA OTENDEREZEBWE
Ekidd: | |
: Ayi Mukama, otenderezebwe, Otenderezebwe, Katonda w’eggulu! Ayi Mukama, otenderezebwe,Otenderezebwenga! | |
1. | Etteeka ly‟Omukama ddungi: lizzaamu amaanyi. |
2. | Ekiragiro ky‟Omukama kinywevu: kiyigiriza abatamanyi bonna! |
3. | Ebiragiro by‟Omukama bituufu, bisanyusa emitima. |
4. | Ekiragiro ky‟Omukama kitukuvu, kimulisa amaaso. |
5. | Bye wateesa byanfuukira nnyimba: eri gye nnalamagira. |
By: Fr. James Kabuye |