Indirimbo ya 30 mu CATHOLIC LUGANDA
30. AYI MUKAMA SINDIKA ABAKOZI
Ekidd: | |
: Ayi Mukama Katonda waffe, Sindika abakozi mu nnimiro yo Amakungula mangi bulala nnyo, Naye abakunguzi be batono ennyo. | |
1. | Otusaasire, ayi Katonda w‟abantu bonna, Tutunuulire, yoleka obusaasizi bwo, Amawanga gonna agatakufaako gategeere, Nga tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Gakutendereze. |
2. | Golola omukono gwo, bonna ab‟amawanga bategeere, Obuyinza bwo, nga bwe wayoleka, Obutuukirivu mu maaso gaabwe ng‟otubonereza, Yoleka ekitiibwa kyo kati mu maaso gaabwe, Ng‟obonereza, abatutuntuza. |
3. | Nga bwe twategeera, era nabo bategeere, Nti tewali Katonda mulala, wabula Ggwe wekka, Ddamu okukola ebyewuunyo, n‟ebyamagero eby‟edda, Gulumiza, engalo zo n‟omukono gwo. |
4. | Tulyowe, ffe be watonda olubereberye, Tuukiriza abalanzi bye baalanga mu linnya lyo, Abakulindirira, bafuna empeera yaabwe, Abantu kwe banaategeereranga, ng‟abalanzi baalanga kituufu. |
5. | Wuliriza, essaala z‟abaweereza bo bano, Bawe omukisa, Aaroni gwe yasabira abaana be, Tuwe okulambika, mu kkubo ery‟obutukuvu, Abantu bonna abali ku nsi bategeere, Nga bw‟oli Katonda ow‟emirembe gyonna. |
By: Fr. James Kabuye |