Indirimbo ya 31 mu CATHOLIC LUGANDA

31. BALINA OMUKISA


1.Soprano Bass 1.
Balina omukisa bali abalumwa – Bannamukisa x2
Enjala n‟ennyonta ey‟obutuukirivu – Bannamukisa x2
Mukama alibamatiza bulikya – Bannamukisa x2
2.Soprano
Beesiimye nnyo abaagala Yezu
okukyayibwa olwa Kristu Katonda
b‟alinda waggulu ewuwe.
3.Soprano Bass
Beesiimye nnyo n‟abakaaba – Bannamukisa x2
Mbeera amaziga agatonnya kati – Bannamukisa x2
Mukama aligasangula lulikya – Bannamukisa x2
4.Soprano
Nneeyagalira Kabaka omu:
Katonda eyantonda n’ampa n’ebibye x2
Ka tunywere ffe abamukkiriza
Tutti: Nneeyagalira Kabaka omu Katonda
eyantonda n’ampa n’ebibye.
By: Mr. Joseph Kyagambiddwa



Uri kuririmba: Indirimbo ya 31 mu Catholic luganda