Indirimbo ya 32 mu CATHOLIC LUGANDA
32. BEESIIMYE NNYO ABATUKUVU
Ekidd: | |
: Beesiimye nnyo abatukuvu, abagoberera amateeka g’Omukama, Beesiimye nnyo abamwagala, abagoberera amakubo ge. | |
1. | Beesiimye bannannyini kkubo omutali bbala, Abatambulira mu tteeka ly’Omukama. |
2. | Beesiimye abagendera ku by’abakuutirira, Abamunoonya n’omutima gwonna. |
3. | Ggwe wassaawo by’olagira bikuumirwe ddala, Singa nno amakubo gange manywevu ne nkuuma by’oteesa. |
4. | Ndikugulumiza mu butereevu bw’omutima, Bwe ndiba njize ebiragiro by’obutuufu bw’olina. |
5. | Omuvubuka alikuuma atya ekkubo lye nga ttukuvu, Ng’akuuma ebiragiro byo mu mutima gwe. |
6. | Nkunoonya n’omutima gwange gwonna, Nze tondeka kuwunjuka ku biragiro byo . |
7. | Mu mutima gwange mwe nkweka enjogera yo, Nneme kukola kibi ekikunyiiza Ggwe. |
8. | Ekitiibwa kibe ekya Patri n’ekya Mwana n’ekya Mwoyo Mutuukirivu. Nga bwe kyali olubereberye na kaakano na bulijjo emirembe n’emirembe. Amiina. |
By: Fr. James Kabuye |