Indirimbo ya 33 mu CATHOLIC LUGANDA
33. OKWAGALA KUKIRA BYONNA
Ekidd: | |
: Okwagala kukira byonna, Yezu Kristu yanjagala, Kya mazima ayagala ffenna, Tumwagale Ye eyatwagala. | |
1. | N‟azaalibwa okubeera nze N‟ayigiriza okubeera nze N‟akomererwa okubeera nze Ne yeeraga ng‟era anjagala. |
2. | N‟avumibwa okubeera nze N‟abonaabona okubeera nze N‟akubibwa okubeera nze Ne yeeraga ng‟era anjagala. |
3. | Yatwagala ffe n‟atubiita N‟atubiita ffe n‟atuganza N‟atufuula ffe abakristu Ne yeeraga ffenna atwagala. |
By: Fr. Gerald Mukwaya |