Indirimbo ya 34 mu CATHOLIC LUGANDA
34. ENGALO Z’ABANAKU
Ekidd: | |
: Engalo z’abanaku ge mawanika ag’obwakabaka obw’omu ggulu, Akamwa k’abaana abakusaba ge mawanika ag’omu ggulu. | |
1. | Buli ky‟owa omwavu oba okiterese mu mawanika Buli ky‟owa abanaku ng‟owadde Ye y‟omu alikuweera empeera. |
2. | Buli ky‟owa abanaku oba okiterese mu mawanika Kristu muyambe mu babonaabona, bw‟obawa ng‟owadde Ye alikuweera. |
3. | Buli ky‟owa abato oba okiterese mu mawanika Bonna abo abalumwa bw‟obayamba oba oyambye Ye alikuweera. |
4. | Omukama omulungi ng‟asanyuka: bw‟omuyamba lulikya nkugambye N‟atukoowoola ffenna abamuyambako n‟atutwala, ne twesiima mu bwakabaka bwe |
By: Fr. Expedito Magembe |