Indirimbo ya 35 mu CATHOLIC LUGANDA

35. EWUWO GYE NSITULIRA OMWOYO GWANGE


Ekidd:
:
a. Mu Bwamatuuka: Omukama Katonda alidda okutulamula,
Mujje tumusinze ffenna!
1.b. Mu Bwamazaalibwa: Omwana Kristu azaaliddwa,
Mujje tumusinze Lugaba!
2.c. Mu Bwameeyoleka: Omukama atweyolese mu Kristu
Omwana we, Mujje tumusinze ffenna.
3.d. Mu Bwekisiibo: Omukama atusaasira mu Kristu Omulokozi,
Mujje tumusinze ffenna.
4.e. Mu Bwamazuukira: Alleluia, Alleluia,
Kristu Azuukidde.
5.f. Obwomwaka: Omukama Katonda Ddunda eyatutonda,
Mujje tumusinze ffenna.
6.Ewuwo gye nsitulira omwoyo gwange
Ayi Mukama Katonda wange.
7.Nneesiga Ggwe, singa nno siswadde,
Abalabe bange nneme kubafuukira nsonga ya kujaganya.
8.Anti bonna abo abasuubira mu Ggwe wekka
Tibaliswala emirembe gyonna.
9.Nnambika mu makubo go era onjigirize
Kubanga Ggwe Katonda Omulokozi wange,
10.Jjukira okusaasira kwo, Ayi Mukama,
N‟ekisa kyo eky‟emirembe gyonna.
11.Omukama mulungi era mutereevu
Ky‟ava ayigiriza aboonoonyi amakubo ge ago: Ekitiibwa ….
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 35 mu Catholic luganda