Indirimbo ya 37 mu CATHOLIC LUGANDA
37. KATONDA NGA YAYINGA OKWAGALA ENSI
Ekidd: | |
: Katonda nga yayinga okwagala ensi Okwagala kwe tukubunye nga twagalana Katonda nga yayinga okwagala ensi Okwagala kwe tukubunye wonna. | |
1. | Adamu n‟Eva nga basobezza Teyabaleka ttayo yatuma Omununuzi – Katonda nga yayinga okwagala ensi Omwana omu ati gwe yalina N‟amuwaayo ku lwaffe atulokole – Katonda nga yayinga okwagala ensi. |
2. | Yezu Kristu atwagala, Bwe tusobya atulinze atusonyiwe – Katonda nga yayinga okwagala ensi. Atutegekera bulijjo embaga ye, Tufune Omubiri n‟Omusaayi gwe – Katonda nga yayinga okwagala ensi. |
3. | Nnyaffe Maria Omuddaabiriza, Tusabire tuddaabirize Omwana wo – Katonda nga yayinga okwagala ensi Nga tuli mu bulamu buno obw‟oku nsi, Tutuukirize okuyitibwa kwaffe – Katonda nga yayinga okwagala ensi. |
4. | Okufuna obulamu obw‟olubeerera Twagale Katonda ne bannaffe – Katonda nga yayinga okwagala ensi. Ekigambo kye tukibunye n‟okwagalana, Olwo alituwa empeera mu ggulu – Katonda nga yayinga okwagala ensi. |
By: Ssebutinde George |