Indirimbo ya 38 mu CATHOLIC LUGANDA

38. KATONDA WO OMWAGALANGA


Ekidd:
: Katonda wo omwagalanga,
n’omutima gwonna,
Muganda wo omwagalanga,
N’omutima gwonna, omwagalanga.
1.Oyagala otya Katonda wo
n‟otakuuma bulamu bwe?
Nedda, nedda mwattu owubwa,
Ayagala Katonda, aba mulamu mu mwoyo.
2.Oyagala otya Katonda wo,
n‟otaganza be yaganza?
Nedda, agamba bw‟atyo owubwa,
Ayagala Katonda ayagala kiisi muntu.
3.Oyagala otya Katonda wo
n‟otagenda ggwe kusinza?
Nedda agamba bw‟atyo owubwa,
Ayagala Katonda, mu kibiina kye mw‟abeera.
4.Oyagala otya ggwe Katonda wo
n‟ogaya ebyo bye yagamba?
Nedda agamba bw‟atyo owubwa,
Ayagala Katonda, akkiriza, atuusa byonna.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 38 mu Catholic luganda