Indirimbo ya 40 mu CATHOLIC LUGANDA
40. KITAFFE BY’OKOLA BYONNA
Ekidd: | |
: Kitaffe by’okola byonna, birungi by’okoze mu ffe, Birungi by’okola byonna ku nsi, Osaanira kutendwa ffe abantu b’oganza bw’otyo, Osaanira kutendwa Ggwe Nnamugereka. Ka tumwebaze ku lwa leero. | |
1. | Mujje muwulire abayita bye mbatendera, Mujje muwulire ebinene bye njogerako, Yafuula abakopi baana b‟alabirira, N‟awa ffe okulaba bw‟ali ow‟ekisa. |
2. | Mujje tuyimbire Omukama Nnyini-bulamu, Mujje tubalage Omukama by‟atukolera, Yafuula abakopi eggwanga linnamukisa, Yassa obulamu, mu ffe obujjuvu. |
3. | Mujje muyimbire Omukama olw‟obulungi bwe, Kubanga yatuwa ebingi eby‟okumuukumu, Afudde olunaku olwaffe lunnamukisa, Naffe tweyagale, sso ka twejage. |
4. | Mujje mukakase abange by‟atukolera, Mujje ffe tuwere okukola ebimusanyusa, Mulungi mutuufu Omukama anatuyambako, Anti y‟atutuma, ffe bajulizi. |
By: Fr. James Kabuye |