Indirimbo ya 41 mu CATHOLIC LUGANDA
41. KRISTU GE MAGOBA GE NNOONYA
1. | Nzijukira ebingi eby‟edda ebyo byannema Nnakwatanga makyamu amakubo nnawaba nnyo. Nnakolanga n‟amaanyi okulaba nga nnyiikira Nnakwatanga makyamu amakubo nnawaba nnyo. |
2. | Nnagobereranga ebyo bye nnayita ebingasa Nnakwatanga makyamu amakubo nnawaba nnyo. Nnagobereranga ebyo bye nnayita ebisanyusa Nnakwatanga makyamu amakubo nnawaba nnyo. |
3. | Naye kati olw‟okubeera Yezu ebyo bye nnayita amagoba ebinyuma ebigasa Nkizudde kwali kufiirwa – Nkizudde yali nsobi nnyo Nkizudde nnamala biseera – Byonna ebyo kwali kufiirwa. |
4. | Olw‟ekyo byonna bwe mbigeranya n‟okumanya Yezu Omukama ekitenkanika. Ndaba nga kwali kufiirwa – Nkizudde yali nsobi nnyo Ndaba nga nnamala biseera – Byonna ebyo kwali kufiirwa. |
5. | Naye olw‟okubeera Yezu – Nnabimala nze mbiyita bisasiro nnabimala Byonna olw‟okubeera Yezu – Nnabivaako nze mbiyita bisasiro nnabimala Biri olw‟okubeera Yezu – Nnabivaako nze mbiyita bisasiro nnabivaako Byonna olw‟okubeera Yezu – Nnabivaako nze mbiyita bisasiro nnabivaako. |
6. | Tutti: Kristu ge magoba ge nnoonya, Omukama ge magoba ge ntereka x2 Njagala ndabike nga sirina ku lwange kintukuza Nga sirina ku lwange kindokola wadde etteeka; Wabula okumanya nti okukkiriza okwo kwe kundokola, Okwagala okwo kwe kunnyamba. |
7. | Kristu ge magoba …….. |
8. | Njagala mmuyige, njagala mmumanye, njagala mmuyige, njagala mmumanye, njagala mmuyige ,njagala mmumanye, Yezu omulungi mmumanye eyannonda. |
9. | Bass: Nze njagala mmuyige njagala, nze njagala mmuyige njagala Nze njagala mmuyige njagala, nze njagala mmuyige njagala. Mmanye n‟amaanyi agasibuka mu kuzuukira kwe, ntegeere n‟amakulu, ag‟okugabana ku musaalaba n‟ofa n‟omufaanana nga ye. |
10. | Soprano: Nange nsuubira bwe ntyo nga ndizuukira amazima, Nange nsuubira bwe ntyo nga ndizuukira mu bafu. |
11. | Tutti: Sigamba nti ndi mutuufu, sigamba nti ntuukiridde, Sigamba nti ndi mulungi, sigamba nti empeera ngifunye, Naye nno nsooka busoosi, muli nze ndi mu kunoonya, Muli nze nsaba n‟amaanyi, Omukam njagala mmutuuke. |
12. | Soprano: Wabula ndayira era mmalirira Bass: Wabula ndayira era mmalirira ne nngamba Nti ebyedda ebyo – Nnabivaako nti ebyedda ebyo tebinnuma. Ebyo ebyayita – nnabimala nti ebyo ebyayita nnabibuuka. Kristu Omununuzi – yabimalawo oyo eyannganza era talinjuza Nze nduubirira bino – ebirijja embiro njagala nzituuse nga bw‟agamba. Ye alyoke ampeere – oyo Omutonzi empeera eyo ye gye yanngamba. Ngifune mu Yezu – oyo Omununuzi oyo eyannganza era talinjuza. |
13. | Tutti:Kristu ge magoba ge nnoonya, Omukama ge magoba ge ntereka x2 |
By: Fr. Expedito Magembe |