Indirimbo ya 42 mu CATHOLIC LUGANDA
42. KRISTU KYE KITANGAALA
Ekidd: | |
:Kristu kye kitangaala Yee, Kristu lye kkubo, ge mazima, bwe bulamu Yatununula, yatwagala, yatufiirira, N’atusaasira, n’atulokola. | |
1. | Ka tumwebaze omuzira ffenna Tumutende n‟amaanyi gonna Tumwongere emitima gyonna Tumuddize ettendo lyonna. |
2. | Ffe ababatize abaliwo leero Mu luwenda lwa Kristu mwe tuli Ettawaaza ye, Kristu gyali Tumwekole Ddunda gyali. |
3. | Bwe watondebwa wafuna byonna Mu bazadde bo Kristu mw‟ali Ye ttawaaza yo, gumira eka Bawulire Kristu asanyuke. |
4. | Ye Kristu akulira ffenna Amulisa emitima gyaffe, Ye musawo wo asobola byonna Muggulire omutima atuule. |
5. | Ggwe eyalayira okuleka byonna, Wasanyukirwa Eklezia yonna, Kati amulisiza abayita ku nsi Tunaawulira Kristu yekka. |
By: Mr. Kamya |