Indirimbo ya 44 mu CATHOLIC LUGANDA
44. MMWE KITANGAALA KY’ENSI
Ekidd: | |
: Mmwe kitangaala ky’ensi, mmwe kitangaala ky’ensi, Mmwe kitangaala ekyaka, Mwakirenga mu nsi muno balabe ebikolwa byammwe ebirungi Balabe ebikowa byammwe ebirungi, Batende Kitammwe (Kitaffe) ali mu Ggulu atudde. | |
1. | Beera musomi atakyukakyuka mu ddiini yo entuufu Beera musomi atuusa eddiini yo, Omulamu, (omulamu) mu Katonda, Omutume, (omutume), ayigiriza abalala, Eyenyigira mu mirimu gyonna egy‟Eklezia etinta. |
2. | Beera musomi ali mu Katonda, mu Mwana we Yezu, Beera musomi atuusa by‟asaba, Mu kukola, mu bulumi ogumanga, Mu bulamu, mu maziga, ayigiriza abalala abeewanika, Okuleka byonna n‟ogoberera Yezu. |
3. | Beera musomi atajuza n‟omu eyeeyuna gy‟oli, Beera musomi atuusa okwagala, Asobola, ayagala okuyamba abanaku, abanaku ng‟obayamba N‟obuzira obw‟enjawulo Mu bizibu byonna talikujuza Yezu. |
By: Fr. James Kabuye |