Indirimbo ya 46 mu CATHOLIC LUGANDA
46. MUJJE TWEBAZE OMUKAMA
Ekidd: | |
: Mujje twebaze Omukama, Kubanga mulungi, muzirakisa, N’okusaasira okukwe kwa mirembe gyonna. | |
1. | Sirina bigambo nze bya kukwebaza, Mukama wange Olw‟ebirungi by‟onkolera ng‟ondabirira. |
2. | Okwegayirira okwange wakuwulira mu ssaala zange, Okutu wakutega n‟owulira nze bye nkugamba. |
3. | Amakubo n‟emitego ebya sitaani nze nnabiwona Kubanga nnakusaba okulokola obulamu bwange. |
4. | Oli mutuufu era wa kisa, Mukama wange, Abatene n‟abanaku era Ggwe tobasuula muguluka. |
5. | Mwoyo gwange, weesirikire, jaguliza mu Katonda Weddire mu nteeko, n‟Omukama omuyimbire. |
6. | Omwoyo gwange ye yaguwonya olumbe, gwali gwa kufa, Omukama, amaziga gange nago yagasangula |
By: Fr. Kizito Mayanja |