Indirimbo ya 47 mu CATHOLIC LUGANDA

47. MULI KITANGAALA


1.Muli kitangaala eky‟ensi
Muli ttawaaza ey‟amazima
Mwakirenga ensi yonna
Emanye Katonda n‟obukulu bwe.
Ekidd:
:Mu kubatizibwa twafuuka baana be
Katonda n’atusindika tube batume be
Ne Mwoyo n’atuwa ffe tube ettaala
Tube kizimbulukusa mu Ggwanga lye. x2
2.Muli basiige mwalondwa
Mufuuse baana ab‟enda emu
Mulagenga nga mwagalana
Amayisa gammwe gabe malamu.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 47 mu Catholic luganda