Indirimbo ya 48 mu CATHOLIC LUGANDA
48. MWENNA ABATONDE B’OMUKAMA
Ekidd: | |
:Mwenna abatonde b’Omukama mutendereze Katonda: Mutendereze Omukama mu nnyimba ne mu bivuga ebya buli ngeri. x2 | |
1. | Mutendereze Omukama mu Nnyumba ye ddala entukuvu Ne mu bbanga ery‟obuyinza bwe. |
2. | Mutendereze Omukama olw‟ebikolwa bye eby‟amaanyi N‟olw‟obulungi obw‟ekitiibwa kye. |
3. | Mumutendereze mu ddoboozi ly‟enngombe, mumutendereze, Mu nnanga ne mu ntongooli. |
4. | Mumutendereze mu nngoma ne mu nnyimba, mu ngoye envuzi, Mumutendereze ne mu madinda. |
5. | Mu nsaazo ez‟envuga ennungi, mumutendereze mu nsaazo ez‟essanyu. Buli kiramu kyonna, kati kitendereze Katonda. |
By: Fr. Kizito Mayanja |