Indirimbo ya 49 mu CATHOLIC LUGANDA
49. NFUULA OMUKUTU OGW’EDDEMBE
Ekidd: | |
: Nfuula omukutu ogw’eddembe x3 Mukutu…ogw’eddembe mukutu Ogw’eddembe, ayi Mukama, buli wantu, Ntuuseeyo okwagala kwo. | |
1. | Nnyamba nneme kunoonya kikubagizo Naye nnoonye okukubagiza abalala. Awali obukyayi, nziseewo okwagala kwo Awali okunyiiza, ntuseewo obusaasizi, Nnyamba nnoonye okutegeera okwagala naye ssi kwagalibwa. |
2. | Nnyamba nneme kunoonya kikubagizo, Naye nnoonye okukubagiza abalala. Enzikiza w‟ezze, nziseewo ekitangaala, Awali obusungu ntuuseewo obusaasizi Nnyamba nnoonye okutegeera okwagala naye ssi kwagalibwa. |
3. | Nnyamba nneme kunoonya kikubagizo, Naye nnoonye okukubagiza abalala. Awali okuyomba, nziseewo nze eddembe lyo, Awali agayadde ntuuseewo okunyiikira, Nnyamba nnoonye okutegeera okwagala, naye ssi kwagalibwa. |
By: Fr. James Kabuye |