Indirimbo ya 50 mu CATHOLIC LUGANDA
50. NJA KUKWEBAZA AYI MUKAMA
Ekidd: | |
: Nja kukwebaza, ayi Mukama, nnaakugulumiza, Kubanga oli mulungi, era oli wa kisa! I II | |
1. | Neegomba okubeera mu nju yo Mu Kiggwa kyo Ekitukuvu – Nnaakugulumiza Mu Weema eyo Entukuvu Mw‟osangwa ayi Katonda – Kubanga oli mulungi, era oli wa kisa! |
2. | Naye ndi munafu, Ayi Mukama,ndi munafu – Nnaakugulumiza Obutakola ky‟onjagaza buli budde! – Kubanga oli mulungi, era oli wa kisa! |
3. | Nga tonnyambye, Ayi Mukama, nnaaba ntya? – Nnaakugulumiza Abalabe bannoonya, bandi bubi, – Kubanga oli mulungi banneetoolodde. era oli wa kisa! |
4. | Nngenda ne mpera, ayi Mukama mu maaso go – Nnaakugulumiza Ne nkusuubiza okukola ebyo by‟oyagala. – Kubanga oli mulungi era oli wa kisa! |
5. | Ekikemo olunzijira, ne nnafuwa – Nnaakugulumiza Endagaano ne nzeerabira, ne nzimenya – Kubanga oli mulungi era oli wa kisa! |
6. | Ka ntende Trinita omu mu basatu gwe tusinza Abasatu abo be tutenda – Nnaakugulumiza be tusinza emirembe gyonna. – Kubanga oli mulungi era oli wa kisa! |
By: Fr. Kizito Mayanja |