Indirimbo ya 51 mu CATHOLIC LUGANDA
51. NKWAGALA NNYO, MUKAMA WANGE
Ekidd: | |
: Nkwagala nnyo, Mukama wange, nja kukwesiga Ggwe lwazi lwange, era amaanyi agampanirira. x2 | |
1. | Ggwe Katonda wange ankuuma n‟onnyamba Ggwe ngabo yange omufunngamye obulokofu bwange. |
2. | Nnakukoowoola Ggwe Omukama ow‟amaanyi Bwe ntyo ne mpona abampalana abankyawa. |
3. | Wantwala mu ttale eggazi, n‟onkuuma, Wandokola, kuba onjagala nnyo. |
4. | Waliwo Katonda ki, okuggyako ono Omukama? Katonda wange tiwali amusinga. |
5. | Yekka Omukama agulumizibwe emirembe gyonna Atenderezebwe nnyo Omukama. |
By: Fr. Expedito Magembe |