Indirimbo ya 52 mu CATHOLIC LUGANDA
52. NNAAGULUMIZANGA OMUKAMA
Ekidd: | |
:Nnaagulumizanga Omukama n’omutima gwonna! Nja kumwagala! Nnaamuyimbiranga ennyimba Okumwebaza, oyo Omutonzi wange. | |
1. | Awulira essaala ze mmuweereza buli kadde. – Nja kumwagala Nfukamira mu Kiggwa kye Ekitukuvu nga nsinza – Nnaamuyimbiranga ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange. |
2. | Era ngulumiza erinnya lya Mukama wange, – Nja kumwagala Oli mwesigwa n‟ekisa kyo tekikoma. – Nnaamuyimbiranga ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange. |
3. | Erinnya lyo kkulu, lya ttendo Mukama wange, – Nja kumwagala Kye nkutendako, wabikuuma ebisuubizo! – Nnaamuyimbiranga ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange. |
4. | Nga nneegayirira gy‟oli mbeera mugumu – Nja kumwagala Oyongeramu mu mwoyo gwange obuzira. – Nnaamuyimbiranga ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange. |
5. | Bwe baliwulira ebigambo byo, Ayi Mukama – Nja kumwagala Bakabaka b‟ensi eno bonna balikugulumiza.- Nnaamuyimbiranga ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange. |
6. | Baliyimba ekitiibwa ky‟Omukama n‟amakubo ge, – Nja kumwagala Ggwe asukkulumya abeetowaze n‟ofeebya abeekuza.- Nnaamuyimbiranga ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange. |
By: Fr. Kizito Mayanja |