Indirimbo ya 53 mu CATHOLIC LUGANDA
53. NNAATENDANGA OMUKAMA OBUDDE BWONNA
Ekidd: | |
: Nnaatendanga Omukama obudde bwonna, Nnaatendanga Omukama obudde bwonna, Nnaatendanga Omukama emirembe gyonna nze. | |
1. | Nnaatenderezanga Omukama obudde bwonna: Ettendo lye mu kamwa kange bulijjo. Omwoyo gwange, gwenyumiriza mu Mukama: Abeetowaze bawulire basanyuke. |
2. | Mugulumize wamu nange Omukama: Tusukkulumize wamu erinnya lye eryo. Nnanoonya Omukama, era n‟anziramu, Ye yamponya byonna bye nnali ntya nze. |
3. | Mutunuulire gy‟ali mulyoke musanyuke mmwe: Amaaso gammwe galeme kuswala. Kale omunaku yalaajana Omukama naye n‟awulira. Era n‟amulokola mu byonna ebyamuli obubi. |
4. | Malayika w‟Omukama yakuba ensiisira ye. Okwetooloola abamutya n‟abawonya bonna. Mulegeko mulabe Omukama nga bw‟ali omulungi. Omuntu amweyuna yeesiimye. |
By: Fr. James Kabuye |