Indirimbo ya 54 mu CATHOLIC LUGANDA
54. NNAMUGEREKA KATONDA OMUKUUMI WANGE
Ekidd: | |
: Nnamugereka Katonda omukuumi wange, Ggwe bugagga bwe nterese, Biri mu Ggwe byonna ebyange Ggwe busika bwange, | |
1. | Mbeerera muyambi, Ggwe aliba empeera yange, Mukama essuubi ly’abanoonya, Nnyweza nkuweereze, nkutuuke gy’obeera. |
2. | Jjinja ery‟omuwendo erinoonyezebwa ye Ggwe, Ayi Mukama Akusanga aba yeesiimye, Ggwe anti entabiro y‟ebirungi byonna, Sseegomba bitiibwa bya nsi eno, bugagga n‟amasanyu gaayo, Biyita kkuutwe, Ayi Mukama w‟oli biba kantu ki? |
3. | Ku bakwemaliza Ggwe ssanyu ye Ggwe ddembe, Ggwe maanyi g‟abalwanyi. Abakuweereza olibaweera, Ggwe ow‟obwenkanya, Omuzirakisa, Abakwesiga tebaliswala. |
4. | Abakweyuna abo beesiimye balimatira, balijula ki? Balibulwa ki ate abakusenga nga Ggwe olina byonna? Ggwe nnyini byonna, Ggwe ntabiro, Ensulo y‟ebirungi eby‟olubeerera. |
5. | Nzuuno nno obulamu bwange mbuzza wuwo, Mu kisa kyo Ggwe wantonda, nneewa Ggwe leero, Ggwe Nnantalemwa gwe nsinza, Mukama wange, Nzuuno nsenza mbe naawe. |
6. | Ombeereranga kikubagizo; (Tutti):Ttaala ey‟okumulisa mu makubo gange; |
7. | Mu lutalo lw‟omu nsi muno onnyambanga:….. N‟otandeka kugwa mu mikono gya balabe bange; |
8. | Onnyambanga n‟omukono gwo ogwa ddyo……. N‟ompa okuwangula abalabe bange; |
9. | Onnywezanga n‟enneema yo eteremwa Mukama …. N‟onnyamba ne nkuweereza; |
10. | Ng‟obw‟omu nsi buweddeko ontwalanga gy‟obeera…. N‟ombalira mu babo. |
By: Ponsiano Kayongo Biva |