Indirimbo ya 55 mu CATHOLIC LUGANDA
55. NZE NNEESIGA DDUNDA MUKAMA WANGE
Ekidd: | |
: Nze nneesiga Ddunda Mukama wange, Buli ekigwawo, buli ekirijja sirinyeenya, Nnyweredde ku Ggwe Mukama wange. x2 | |
1. | Mmwe ensi zonna musaakaanye n‟essanyu, Mukube emizira nga mugulumiza erinnya ly‟Omukama. Nga lisusse lya magero, nga lisusse lya magero, N‟obuyinza bwe tebuddirira. |
2. | Mmwe ensi zonna musaakaanye n‟essanyu, Mukube emizira nga mutunuulira ebikuuno by‟Omukama. Nga bisusse bya magero, nga bisusse bya magero, N‟obuyinza bwe tebuddirira. |
3. | Mmwe ensi zonna musaakaanye n‟essanyu, Mukube emizira nga mugulumiza obukulu bw‟Omukama. Nga bususse bwa magero, nga bususse bwa magero, N‟obuyinza bwe busukkirivu, |
4. | Mmwe ensi zonna musaakaanye n‟essanyu, Mukube emizira kubanga alamuza ddembe na buyinza. Nga kirungi kya magero, nga kirungi kya magero, N‟obuyinza bwe busukkiriv |
By: Fr. James Kabuye) s |