Indirimbo ya 56 mu CATHOLIC LUGANDA
56. NZE NJA KUYIMBA
Ekidd: | |
: Nze nja kuyimba obulamu bwonna Nnyimbira Katonda Omukama eyantonda, owange nnyini bulamu. | |
1. | Ntendereza ebirungi by‟akola – Ye Nnamugereka Nnondoola ebirungi; nga nkumu! |
2. | Kabaka ow‟ekitiibwa, tolabwa Osinga balubaale, tokirwa! – Mu bukulu bwo |
3. | Ennyanja n‟ensi yabikola – Ng‟abiteekawo! Tumusinze eyatonda ffe nnyini! |
4. | Ggwe tutwale, Kabaka ow‟ekisa – Ng‟otulambika Otutuuse, otuwe, ekiwummulo! |
By: Fr. Joseph Namukangula |