Indirimbo ya 57 mu CATHOLIC LUGANDA
57. NZUUNO OMUZAANA W’OMUKAMA
Ekidd: | |
: Nzuuno, nzuuno omuzaana w’Omukama, Kinkolebwe nga bw’ogambye. | |
1. | Muyimbire Omukama oluyimba oluggya. Muyimbire Omukama mmwe ensi zonna. |
2. | Muyimbire Omukama mutendereze erinnya lye, Mulangirire buli kanaku obulokozi bwe. |
3. | Ekitiibwa kye mukinyumye mu bakaafiiri, Mu bantu bonna ebikuuno bye. |
4. | Anti Omukama mukulu era atenderezebwa nnyo, Atiibwa okusinga balubaale bonna |
By: Fr. James Kabuye |