Indirimbo ya 58 mu CATHOLIC LUGANDA

58. SI BULI AGAMBA “MUKAMA”


1.Si buli ayogera – Mukama
Si buli ayogera – Mukama
Si buli ayogera – nti Mukama wange, Mukama wange
Y‟aliyingira mu bwakabaka.
2.Wabula alikola – Kitange ky‟ayagala
Wabula alikola – Kitange ky‟ayagala
Wabula alikola – n‟atuusa Kitange ky‟ayagala
Y‟aliyingira obwakabaka obw‟omu ggulu.
3.Bangi baligamba mu budde obw‟okulamulwa, twakuweereza
Mukama eddiini twagirwanirira tuli babo. Yee, balirekaana ne bagamba nti:
Twabeera nnyo mu Makerezia, mu Makanisa, n‟Emizigiti Mukama
alibagamba:
Ekidd:
: Nga sibamanyi nga sibamanyi
Nze sibamanyi nze mmwe sibamanyi mugende!
4.Twavumirira nnyo abamaddiini amalala mu linnya lyo.
5.Twayigiriza nnyo ne mu butale ne ku paaka enjiri yo.
6.Twakumba nnyo ne mu bibuga ne bbandi ne zivaayo.
7.Twakuyimbira nnyo ne tunyumirwa ekiro kyonna ne tubukeesa.
8.Twalokoka lumu ne tumatira ne tulangirira bwe tulokose.
9.Twawakanya nnyo abamadiini amalala ne tubasinga.
10.Twayigganya nnyo abamadiini amalala mu linnya lyo.
11.Twabeera nnyo mu Makerezia, mu Makanisa, n‟Emizigiti.
12.MUKAMA ALIBAGAMBA
13.Timwakola Kitange by‟asaba, Timwakola by‟alagira mugende,
Sibamanyi munnyamuke mugende, Sibamanyi munnyamuke.
14.Kitange ky‟ayagala kwe kwagalana baaba,
Kwe kussa ekimu baaba kwe kutabagana ffenna.
15.Eyo eddiini ya ngeri ki ekukyayisa banno,
Ekusosoza banno oluusi n‟obatta mbu kuba si ba ddiini yo si ba ggwanga lyo?
16.N‟olowooza mbu osanyusa Katonda. Weerimba weerimbira ddala
Tomusanyusa Katonda.
By: Fr. Expedito Magembe) s



Uri kuririmba: Indirimbo ya 58 mu Catholic luganda