Indirimbo ya 59 mu CATHOLIC LUGANDA
59. TANSAANIRA
1. | Ayagala kitaawe okukira nze … Tansaanira x2 Ayagala nnyina okusinga nze … ,, Ayagala ababe okukira nze … ,, Ayagala ebyensi okusinga nze … ,, |
2. | Buli awatanya okuwonya obulamu bwe – Aba abufiiriddwa, Naye alibuvaamu okubeera Yezu – Oyo yeesiimye alibusanga. |
3. | Yezu Tumwagala tutya, Omulokozi tumukolere ki? Yezu Tumuyisa tutya okumulaga nga bwe tumufaako? Be yanunula Tubaagala tutya, okukakasa nga bwe twevaamu? Ekigambo kye ….Tukikutte tutya, obulamu bwaffe bukyuse butya? |
4. | Buli awatanya okuwonya obulamu bwe… Aba abufiiriddwa, Naye alibuwaayo okubeera Yezu … Oyo yeesiimye alibusanga. |
By: Fr. Vincent Bakkabulindi |