Indirimbo ya 63 mu CATHOLIC LUGANDA
63. WEEYAGALIRE MU MUKAMA
Ekidd: | |
: Weeyagalire mu Mukama Alikuwa byonna omutima gwo bye gwegomba. | |
1. | Leka kusuukiira olw‟okubeera abakola obubi, Nandibadde ggwe okukwatirwa obuggya abakola obubi. |
2. | Ggwe suubira mu Mukama, kola bulungi, Olyoke obeerewo mu nsi muno ng‟otudde ntende. |
3. | Ekkubo lyo likwase Mukama akukuume, Suubira mu Ye ggwe bulijjo alikuyamba. |
4. | Obutuufu bwo alibuggyayo ng‟ekitangaala Obwannannyini obubwo alibuggyayo ng‟ettuntu! |
5. | Ggwe wummuliranga mu Mukama era suubira mu Ye ggwe. Omukama ayagala obutuufu n‟abo abatuukiridde talikuleka. |
6. | Abatuufu b‟olonze balirya ensi, Baligibeerako bo mu ddembe emirembe gyonna. |
By: Fr. James Kabuye |