Indirimbo ya 65 mu CATHOLIC LUGANDA
65. ABAKRISTU, DDUNDA TUMUWE
Ekidd: | |
: Abakristu, Ddunda tumuwe Byonna ebyaffe n’essanyu Tumuddize ebyaffe Lugaba Wamu ne Kristu ali naffe. | |
1. | Ebirabo biri eby‟edda, byo tibyasiimibwa Kino ekiggya ekya Yezu, kinaakusanyusa. |
2. | Ebirabo byaffe ebingi, si birungi nabyo, Ggwe bisiime, kuba Yezu gw‟osiima abyanjudde. |
3. | Eno evviini ku Altari, yiino evudde mu nsi Era siima omugaati ogwo, guvudde gwo mu nsi. |
4. | Ggwe, Kitaffe ow‟ettendo, yambanga abantu bo, Okubeera olwa Kristu, gw‟oganza atwanjudde. |
By: Fr. James Kabuye) s |