Indirimbo ya 67 mu CATHOLIC LUGANDA
67. AMAKULA GO TULEETA
Ekidd: | |
: Amakula go tuleeta, Ewuwo Kitaffe atwagala ……………. Ddunda Omugaati n’evviini Amakula go tuleeta ……………….. amakula go Ddunda Amakula go tuleeta …………….. amakula go Amakula go tuleeta …………….. n’ebirungi byonna bye Ewuwo Kitaffe atwagala ……… tufunye Tubikuddiza, Ggwe Kitaffe Ggwe atwagala Ddunda Ddunda Kitaffe. | |
1. | Kino kya kitiibwa, Mukama Katonda mu baana be, Wamma kya kitiibwa abamumanyi, Lwe tujja gy‟ali okwebaza Omutonzi Tunaamuwa ki kye tulina? Tunaamuwa ki ffe abaana be? Ka tumuddize ku ebyo by‟atuwa, okumwebaza ffe by‟atukolera. |
2. | Kino kya kutenda Mukama Katonda mu baana be, Wamma kya kutenda obutamala, nga tuzze gy‟ali twebaza Omutonzi Tunaamuwa ki kye tulina? Tunaamuwa ki ffe abaana be? Ka tumuddize obulamu bw‟atuwa okumwebaza ffe bya‟tukolera. |
3. | Kino kya kuyimba Mukama Katonda mu baana be, Wamma tumuyimbe ffe abamumanyi, ffe abazze gy‟ali twejaga ddala nnyo Tunaamuwa ki kye tulina? Tunaamuwa ki ffe b‟ayise? Ka tumuddize emitima gy‟atuwa, okumwebaza ffe by‟atukolera |
By: Fr. James Kabuye |