Indirimbo ya 69 mu CATHOLIC LUGANDA
69. AYI MUKAMA KATONDA WAFFE
Ekidd: | |
: Ayi Mukama Katonda waffe, twegasse ne Nnyaffe Maria Tukuweereza ebitone byo bino, n’omwoyo ogumenyese. N’ekisa wulira essaala za Yezu. | |
1. | Nga tujjukira okubonaabona kwa Yezu Kristu Omwana oyo, N‟okuzuukira n‟okulinnya kwe, mu ggulu afuga byonna. |
2. | Nga tujjukira olunaku luli, lwe yali mu Senakulo Yagamba “Kino Mubiri gwange, kino Musaayi gwange” |
3. | Era tuddamu okuweereza, Ekitambiro kya Yezu, Kye yatambira olwaffe nno abantu, alyoke atulokole. |
4. | Ffenna twegatta ne tuba kimu, ne Yezu Kristu atwesiimya Olwo twambuka n‟essanyu ezzibu, wa Kitaffe oyo ffenna. |
5. | Mujje twebaze byonna by‟atuwa, lwe tujja gy‟ali n‟atwewa Obutamala gy‟ali mu ggulu, tulimutenda ffenna. |
By: Fr. James Kabuye |