Indirimbo ya 70 mu CATHOLIC LUGANDA
70. BIIBINO TUBIREESE
Ekidd: | |
: Biibino tubireese, biibino ebirabo Tubireese, olw’okwebaza Ggwe By’otuwa! Ha! ha! Byonna by’okoze Nga bya buyinza Ha! ha! Twesike bannange twanguwe. Tutuukeyo ku mwaliiro. Atalaba kino y’ani? Gaba, Gaba toola – Entasiima ebula agiwa. Entasiima, entasiima ebula agiwa. | |
1. | Mazima engalo ensa ziwoomera nnyini zo Emmere gye nnina ewange, Tiwali agirabirira okuggyako Ggwe Ddunda nkusiime ntya! Oh! |
2. | Mazima engalo ensa ziwoomera nnyini zo, Bugagga bwe nnina ewange Tiwali abulabirira okuggyako Ggwe Ddunda nkusiime ntya! Oh! |
3. | Mazima engalo ensa ziwoomera nnyini zo, Mikwano gye nnina eri nze Tiwali agirabirira okuggyako Ggwe Ddunda nkusiime ntya ! Oh! |
4. | Mazima engalo ensa ziwoomera nnyini zo, Bafuzi ab‟ensi n‟eddiini Tiwali abalabirira okuggyako Ggwe Ddunda nkusiime ntya! Oh! |
By: J. Yiga |