Indirimbo ya 72 mu CATHOLIC LUGANDA

72. DDUNDA OYO KATONDA


Ekidd:
: Ddunda oyo Katonda, ndimuwa ki, ndimuwa ki?
Ddunda oyo Katonda ndimuwa ki, ndimuwa ki?
Sirina era nze kiyinza kugatta eyantonda, eyanjagala
N’afa ku musaalaba, n’ava awo, n’ambiita, n’anfuula Omukristu,
Ebbanja nnina ddene nnyo okuwaayo byonna bye nnina
Ebbanja nnina ddene nnyo okuwaayo byonna bye nnina.
1.Ka ntoole ku bibala eby‟entuuyo Mbiwe oyo Taata
Era taaleme kubisiima Mbiwe oyo Taata ,, ,,
Tusituke, tubimukwase ,, ,,
Tugendeyo, tubimukwase ,, ,,
Tusembere, tubimukwase ,, ,,
Twesike nno ,, ,,
Trinita Omutuukirivu ebyaffe bisiime x2 Era ……….
Bino bye tuleese kye kitundu ky‟Ekitambiro x2 Era ……..
Ffe okujja mu Missa, tuzze kutambira x2 Era taaleme kubisiima
Bonna: Ffe okujja mu Missa, tuzze kutambira.
By: Fr. Vincent Bakkabulindi



Uri kuririmba: Indirimbo ya 72 mu Catholic luganda