Indirimbo ya 73 mu CATHOLIC LUGANDA
73. DDUNDA, TUSAASIRE
Ekidd: | |
: Ddunda, tusaasire, ffe abajja gy’oli n’ebitone! Ddunda, bikkirize, ebiva mu ffe Ggwe nno b’olonze! | |
1. | Tuzze gy‟oli Kitaffe, Ggwe Katonda Ye ggwe atasingwa bukulu; Siima twala ebitone bye tuleeta Byonna, siima, Ssebo, bikuwe ekitiibwa kyo. |
2. | Tuzze gy‟oli alamula buli kantu Byonna bisaanye bikutende. Teri mu ebyo ebitonde kikusinga Byonna Ggwe obifuga, byonna bikugondera. |
3. | Yiino evviini gye tuwa n‟omugaati, Byebyo by‟osiima mu bantu bo, Kristu ye bye yeeyamba n‟atugamba Yonna nze mbatuma, mukolenga kye nkoze. |
4. | Tuzze gy‟oli Kitaffe Ggwe atubumba, Ffenna abaavu nno lunkupe. Tuzze twesiga, Ssebo, okuyambwa Byonna siima, Ssebo otuwe bye twetaaga. |
By: Fr. James Kabuye |