Indirimbo ya 74 mu CATHOLIC LUGANDA

74. EBIRABO BYAFFE BINO


Ekidd:
: Ebirabo byaffe bino bye tutegeka
Biibino bisiime era naffe kwe tuli:
Ffe abaweereza ffe babo be walondamu,
Tuutuno ne Yezu ffe tukuweereza.
1.Abaweereza abo nno beebo abaana bo
Gwe baweereza ate nno naye Mwana wo.
2.Ekikolebwa ffe wano ky‟ekyo ekyaliwo
Olwo Kabona wo Yezu ng‟alya ekijjulo.
3.Abatume be, baaba, nga tibamanyi;
Nga Mukama waabwe oyo yali abaleka.
4.Ng‟abasiibula sso nno nga tabaleka
Ng‟emuweddeko essaawa, alage okwagala.
5.Kye tukusaba, Taata; bye tuweereza
Bituviiremu ettendo ery‟okwagala
By: Fr. Gerald Mukwaya



Uri kuririmba: Indirimbo ya 74 mu Catholic luganda